Numbers 31:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empooza eno evudde ku kyokubiri kye bagabanye giwe Eleyazari ng'ekitone ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusolo ogwo mujja kuguggya ku kitundu ekya wakati ekinaagabanibwa abatabaazi mukiwe Eriyazaali kabona nga kye kitundu kya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusolo ogwo guggye ku mugabo gwabwe, oguwe Eriyazaali kabona, okuba ekiweebwayo ekisitulibwa, ekya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusolo ogwo, oguggye ku mugabo gwabwe, oguwe Eleyazaari kabona, gube ekiweebwayo ekiwongerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
guggye ku kitundu kyabwe, oguwe Eriyazaali kabona, okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama.