Numbers 31:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Musa n'agamba abantu nti: “Mwambaze abasajja mu mmwe bagende balwanyise Abamidiyaani musobole okutuukiriza Omukama ky'asabye eky'okuwoolera eggwanga ku Bamidiyaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba abantu nti, “Muyungule okuva mu mmwe abasajja abalwanyi mubawe ebyokulwanyisa, beetegekere olutalo, batabaale Midiyaani bawoolere eggwanga lya Mukama Katonda ku Midiyaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba abantu nti, “Mulonde abasajja mu mmwe, mubawe eby'okulwanyisa, balwanyise Abamidiyaani bababonereze olw'ekyo kye baakola Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba abantu nti: “Mulonde abasajja mu mmwe, mubawe ebyokulwanyisa, bagende mu lutalo okulwanyisa Abamidiyaani, okubabonereza olw'ebyo bye baakola Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba abantu nti Muggye mu mmwe abasajja mubawe eby'okulwanyisa olw'entalo, batabaale Midiyaani, okuwoolera eggwanga lya Mukama ku Midiyaani.