Numbers 31:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ku kyokubiri ekiweereddwa Abayisirayeli, toolako kimu kimu ku buli makumi ataano ag'abantu, ente, endogoyi, endiga n'ebirala byonna, obiwe Abaleevi abalina obuvunaanyizibwa okulabirira Ekisulo ky'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku munyago gw’abaana ba Isirayiri abasigaddewo munaggyako ekitundu kimu ku bitundu ataano, oba bantu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga oba mbuzi oba ensolo endala zonna. Ebyo mujja kubiwa Abaleevi, abalabirira Weema ya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mugabo ogw'Abaisiraeri abataatabaala, onoosoloozaako omuntu omu, ku buli bawambe ataano, era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi, ku ndiga ne ku nsolo endala zonna; obiwe Abaleevi abalabirira Eweema ya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ku mugabo ogw'Abayisirayeli abalala bonna, onoosoloozaako omuntu omu, ku buli bawambe makumi ataano, era onookola bw'otyo ne ku nte, ne ku ndogoyi, ne ku mbuzi n'endiga, ne ku nsolo endala zonna, obiwe Abaleevi abalabirira Eweema ya Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri onoggyako obumu obuggibwa ku buli ataano, ku bantu, ku nte, ku ndogoyi, ne ku mbuzi, ku nsolo zonna, n'obuwa Abaleevi, abakuuma ennyumba ya Mukama gye baateresebwa.