Numbers 31:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwayo olwasigalawo eggye lye lyali linyaze: endiga obusiriivu mukaaga mu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omunyago ogwasigalawo abatabaazi gwe beetwalira gwali bwe guti: Endiga, emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano (675,000).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu ebyasigalawo ku mugabo abatabaazi gwe baanyaga nga bamaze okuggyako omusolo gwa Mukama byali: endiga obusiriivu mukaaga mu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (675,000),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu ebyasigalawo ne biba omunyago abaserikale gwe baanyaga, byali endiga emitwalo nkaaga mu musanvu mu enkumi ttaano,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eby'okugereka ebyafikkawo ku munyago abasajja abatabaazi gwe baanyaga, byali endiga obusiriivu mukaaga mu obukumi musanvu mu enkumi ttaano,