Numbers 31:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'awa Eleyazari kabona ekitone ky'Omukama ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusolo gwa Mukama, Musa n’aguwa Eriyazaali kabona, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; n'awa Eriyazaali kabona, omusolo ogwo gwonna, nga kye kiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: n'awa Eleyazaari kabona omusolo ogwo gwonna, ne guba ekiweebwayo ekiwongerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'awa Eriyazaali kabona omusolo, kye kyali ekiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.