Numbers 31:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ekyokubiri Musa kye yaggyirako Abayisirayeli, kye yali aggye ku mugabo gw'abasajja abaalwana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu eky’omu makkati eky’omunyago ogwaweebwa abaana ba Isirayiri nga Musa amaze okuggyako ogw’abatabaazi abaalwana mu lutalo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omugabo gw'ekibiina ky'abantu bonna Musa gweyayawulako gwali gwe nkanankana n'ogw'abatabaazi abaatabaala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekimu ekyokubiri Musa kye yayawula ku ky'abasajja abaatabaala ne kiba eky'Abayisirayeli abalala bonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'aggya ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri, Musa kye yayawula ng'akiggya ku basajja abaatabaala,