Numbers 31:47 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yaggyako kimu ku buli makumi ataano ag'abantu n'ensolo, n'akiwa Abaleevi abaalina obuvunaanyizibwa okulabirira Ekisulo ky'Omukama, ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu eky’omugabo eky’abaana ba Isirayiri, Musa n’aggyako ekitundu kimu ku buli bitundu ataano byombi eby’abantu n’eby’ebisolo, n’abiwa Abaleevi abaalabiriranga Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mugabo ogwaweebwa abantu, Musa n'aggyako omuntu omu ku buli bantu ataano (50), n'ensolo emu ku buli nsolo ataano (50), nga Mukama bwe yamulagira, n'abiwa Abaleevi abaalabiriranga Eweema ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku kitundu ekyo ekyaweebwa Abayisirayeli, Musa n'aggyako omuntu omu omu ku buli bantu makumi ataano, n'ensolo emu emu ku buli nsolo amakumi ataano, nga Mukama bwe yamulagira, n'abiwa Abaleevi abaalabiriranga Eweema ya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku kitundu eky'abaana ba Isiraeri Musa n'aggya obulamu bumu obuggibwa ku buli ataano, ku bantu era ne ku nsolo, n'abiwa Abaleevi abaakuumanga ennyumba ya Mukama gye baateresebwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.