Numbers 31:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera ekyo, buli omu aweerezza Omukama ekitone ekya zaabu gwe twasobola okusanga: obukomo, obunyere, empeta, empeta z'oku matu n'ebibira, tuddaabirize ku lwaffe mu maaso g'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tuleetedde Mukama Katonda ekiweebwayo nga kya bintu ebya zaabu buli omu ku ffe bye yanyaga; mwe muli ebikomo eby’oku mikono, emikuufu egy’oku magulu, empeta z’oku ngalo n’empeta ez’omu matu n’obutiiti obw’omu bulago, twetangiririre mu maaso ga Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kye tuvudde tuleeta ekirabo kya Mukama ku by'obuyonjo buli omu by'afunye: zaabu, emikuufu, emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale tuleese ku by'okwewoomya ebya zaabu buli omu by'afunye: emikuufu, obunyere, empeta ez'oku ngalo n'ez'oku matu, n'ebikomo. Tubitonera Mukama, nga twesabira ekisonyiwo gy'ali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tuleese ekirabo kya Mukama, buli muntu ky'afunye, eby'obuyonjo ebya zaabu, emikuufu egy'oku magulu, n'emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, n'ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama