Numbers 31:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaabu yenna ow'abagabe b'enkumi n'ebikumi Musa ne Eleyazari gwe baaweereza eri Omukama, ng'ekitone eky'okuwuuba, yali azitowa sekeli omutwalo gumu mu kakaaga mu lusanvu mu ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zaabu yenna abaduumizi b’enkumi, n’abaduumizi b’ebikumi gwe baleeta eri Musa ne Eriyazaali kabona, okuwaayo eri Mukama Katonda, yali apima obuzito bwa kilo kikumi mu kyenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baawaayo eri Mukama, yali eweza sekeri omutwalo gumu mu kakaaga mu lusanvu mu ataano (16,750).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaabu yenna gwe baggya ku bakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi mu ggye, ow'ekiweebwayo ekitonerwa Mukama, ne kiba kikye mu ngeri eyenjawulo, zaabu oyo yaweza kilo nga ebikumi bibiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa kye baawaayo eri Mukama; nga bagiggya ku baami b'enkumi ne ku baami b'ebikumi, yali sekeri kakumi mu kakaaga mu lusanvu mu ataano.