Numbers 31:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'abasindika mu lutalo, abasajja lukumi okuva mu buli kika, wamu ne Finekasi mutabani wa Eleyazari kabona. Yatwala n'ebintu okuva mu Ekitukuvu, n'eŋŋombe ey'okufuuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’abasindika mu lutalo, abalwanyi lukumi nga bava mu buli kika; ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’ebintu by’omu watukuvu n’amakondeere ag’okulwana ng’ali nago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abasindika okutabaala, nga bakulembeddwa Fenekansi, mutabani wa Eriyazaali kabona, eyagenda n'ebintu eby'omu watukuvu, n'amakondeere ag'okufuuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'atuma abantu abo olukumi okuva mu buli kika, ne bagenda okutabaala, nga bakulemberwa Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona, eyagenda n'ebintu eby'omu Kifo Ekitukuvu, n'amakondeere ag'okufuuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abasindika okutabaala, ku buli kika lukumi, bo ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, okutabaala, awamu n'ebintu eby'omu watukuvu n'amakondeere agalawa mu mukono gwe.