Numbers 31:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana baabwe n'amagana g'ente n'endiga, ne buli kintu ne bakyaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne bawamba abakazi ba Midiyaani n’abaana baabwe, ne banyaga ente n’ebisibo byabwe n’ebintu ebirala bingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana baabwe abato; amagana g'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi, n'ebintu ebirala byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana abato ab'Abamidiyaani, n'amagana gaabwe gonna ag'ente, n'ag'endiga n'embuzi, n'ebintu byabwe byonna, ne babitwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi ba Midiyaani n'abaana baabwe abato; n'ebisibo byabwe byonna, n'embuzi zaabwe zonna, n'ebintu byabwe byonna ne babitwala okuba omunyago.