Numbers 32:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Rubeni ne bazzukulu ba Gaadi baalina amagana manene nnyo; ne balaba ensi y'e Yakuzeeli ne Gileyaadi nga kifo kirungi ku magana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo ddala. Awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi nga nnungi okulundiramu ensolo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ab'Ekika kya Gaadi, baalina ensolo nnyingi nnyo nnyini. Kale ab'ebika ebyo byombi bwe baalaba ensi y'e Yazeri n'ey'e Gileyaadi, nga nnungi okulundiramu ensolo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo nnyini: awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi, nga, laba, ekifo ekyo kifo kya nsolo;