Numbers 32:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'amubungeeseza mu ddungu emyaka amakumi ana, okutuusa ng'ezzadde eryo lyonna liweddewo eryali likoze ekibi mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatambuliza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa omulembe gw’abo abaasobya mu maaso ga Mukama lwe gwaggweerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alyoka abonereza abaana ba Isiraeri n'ababungeeseza mu ddungu okumala emyaka ana (40), okutuusa ab'ezadde eryo lyonna abaakola ebibi, lwe baggweerawo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'asunguwalira nnyo Abayisirayeli, n'ababungeeseza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana, okutuusa ab'ezzadde eryo lyonna abaakola ebibi, lwe baafa ne baggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatambulizatambuliza eyo n'eyo mu ddungu emyaka ana, okutuusa ezzadde lyonna abaali bakoze obubi mu maaso ga Mukama lwe baazikirira.