Numbers 32:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati muumuno, ezzadde ly'abantu aboonoonyi, muzze mu kifo kya bajjajjammwe obusungu bw'Omukama mubwongere okweserera ku Yisirayeli n'okusingawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno mmwe muli bazzukulu baabwe, batabani b’abakozi b’ebibi, nga mwongera okunakuwaza Mukama Katonda anyiigire Isirayiri!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe, okufaanana bakitammwe, mwagala okukola ebibi, Mukama asunguwalire Isiraeri nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano mmwe muzze mu kifo kya bakitammwe, olulyo lw'abakozi b'ebibi, okwongera okuleetera Mukama okusunguwalira Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, mmwe muyimiridde mu kifo kya bakitammwe, okwala okw'abantu abalina ebibi, okwongera nate ekiruyi kya Mukama eri Isiraeri.