Numbers 32:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muva ku ky'okumugoberera, abantu bano ajja kubaleka mu ddungu omulundi omulala; mmwe munaaba mubaleetedde okuzikirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga singa mumukuba amabega ne mutakola by’ayagala ne mutamugoberera, abantu be ajja kwongera okubeesammulako, nate abaleke mu ddungu omulundi ogwokubiri, era bwe balizikirira mwe mulibaako obuvunaanyizibwa obwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe munaamujeemera, anaabaleka nate omulundi ogwokubiri mu ddungu, nammwe munaaletera abantu bano bonna okuzikirizibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe bwe munaakyuka ne mumuvaako, ajja kuddamu okuleka abantu bano bonna mu ddungu, mubaleetere okuzikirizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe munaakyuka obutamugoberera, anaabaleka nate omulundi ogw'okubiri mu ddungu nammwe munaazikiriza abantu bano bonna.