Numbers 32:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamusemberera ne bamugamba nti: “Twagala tukolere wano ebisolo byaffe engo, era tuzimbire bakazi baffe n'abaana baffe ebibuga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaana ba Gaadi n'aba Lewubeeni ne baddamu Musa nti, “ Katusooke tuzimbire ensolo zaffe ebiraalo, n'abaana baffe abato ebibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni ne basemberera Musa, ne bamugamba nti: “Ka tusooke tuzimbire ensolo zaffe ebisibo, n'abaana baffe abato ebibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamusemberera ne bagamba nti Tunaazimbira ensolo zaffe ebiraalo wano, n'ebibuga olw'abaana baffe abato: