Numbers 32:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ffe twetegese okubagalira ebyokulwanyisa tukulemberemu Abayisirayeli, okutuusa lwe tunaabayingiza mu bifo byabwe. Bakazi baffe n'abaana baffe bajja kusigala mu bibuga okuli ebigo ebinywevu okubataasa okulumbibwa bannansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma ffe bennyini tunaakwata eby'okulwanyisa, netukulembera abaana ba Isiraeri, okutuusa lwe tulimala okubayingiza mu butaka bwabwe bo, naye abaana baffe abato basigale mu bibuga ebigumu, ebiriko enkomera, olw'okwerinda abantu ab'omu nsi eno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo tunaaba beetegefu okukwata ebyokulwanyisa tukulemberemu Bayisirayeli bannaffe, okutuusa lwe tulibatuusa mu kitundu ky'ensi ekyabwe, abaana baffe basigale mu bibuga ebiriko ebigo ebigumu, olw'okwerinda abantu ababeera mu nsi eno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ffe bennyini tuliba nga tweteeseteese nga tukutte eby'okulwanyisa okukulembera abaana ba Isiraeri okutuusa lwe tulimala okubayingiza mu kifo kyabwe: n’abaana baffe abato balituula mu bibuga ebiriko enkomera olw'abo abatuula mu nsi.