Numbers 32:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era tetujja kufuna busika mitala wa Yorudani, kubanga obusika obwaffe tubufunye eno ebuvanjuba wa Yorudani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ffe tetulifuna mugabo emitala wa Yoludaani n'okweyongerayo, kubanga obusika obwaffe tumaze okubufuna eno emitala, ebuvanjuba wa Yoludaani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tetuligabana wamu nabo ttaka, ku ludda luli olwa Yorudaani n'okweyongerayo, kubanga omugabo ogwaffe tugufunye ku ludda luno, olw'ebuvanjuba bwa Yorudaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetulisikira wamu nabo emitala wa Yoludaani n'okweyongerayo; kubanga obusika bwaffe butugwiridde emitala w'eno ewa Yoludaani ebuvanjuba.