Numbers 32:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'abagamba nti: “Bwe mulikola kye musuubizza, ne mubagalira ebyokulwanyisa eby'olutalo mu maaso g'Omukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’abagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama Katonda nga mwetegekedde olutalo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abagamba nti, “Bwe munaakola nga bwe mwogedde, ne mukwata eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama ne mugenda okutabaala,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abagamba nti: “Singa ddala munaakola ekyo, ne mukwata ebyokulwanyisa, ne mugenda okutabaala nga mukulembeddemu Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abagamba nti Bwe munaakola ekigambo ekyo; bwe munaakwata eby'okulwanyisa okukulembera Mukama okutabaala,