Numbers 32:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era mwenna bwe mulyebagalira ebyokulwanyisa ne musomoka Yorudani, okutuusa Omukama lw'aligobawo abalabe be mu maaso ge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne musomoka Yoludaani n’ebyokulwanyisa byammwe mu maaso ga Mukama Katonda, okutuusa ng’agobye abalabe be mu maaso ge,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era buli alina eby'okulwanyisa bw'anasomoka Yoludaani mu maaso ga Mukama okutuusiza ddala Mukama lwaliwangula abalabe be;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mwenna abalina ebyokulwanyisa, bwe munaasomoka Omugga Yorudaani nga mukulembeddemu Mukama, okutuusa lw'alimala okuwangula abalabe be b'ayolekedde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
na buli musajja ku mmwe alina eby'okulwanyisa bw'anaasomoka Yoludaani mu maaso ga Mukama, okutuusa lw'aligobera ddala abalabe be mu maaso ge,