Numbers 32:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'ensi yonna emaze okuwangulibwa mu maaso g'Omukama, olwo mulikomawo mu nsi eno, nga temuliiko kye muvunaanibwa mu maaso g'Omukama ne Yisirayeli, n'ensi eno eribeera yammwe ng'obutaka mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oluvannyuma ne mulyoka mukomawo, era temulibaako musango eri Mukama, n'eri Isiraeri, olwo ensi eno eneebanga obutaka gye muli mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne yeefuga ensi eyo, olwo mulisobola okudda, ne mutabaako kye muvunaanibwa Mukama ne Bayisirayeli bannammwe. Era Mukama alikakasa ensi eno okuba obutaka bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensi n'ewangulwa mu maaso ga Mukama: awo oluvannyuma ne mulyoka mukomawo, ne mutabaako musango eri Mukama n'eri Isiraeri; n'ensi eno eneebanga butaka gye muli mu maaso ga Mukama.