Numbers 32:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kino bwe mutaakikole, munaaba mukoze ekibi ew'Omukama; era mutegeere nti ekibi kyammwe kiribasanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ng’ekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe mutaakole nga bwe mwogedde, nga mwonoonye Mukama era mutegeerere ddala ng'okwonoona kwammwe kulibayigga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe mutaakole bwe mutyo, mbalabula nti munaaba mukoze ekibi ne munyiiza Mukama, era mumanye nga mulibonerezebwa olw'ebibi byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mutaakole bwe mutyo, laba, nga mwonoonye Mukama: era mutegeerere ddala ng'okwonoona kwammwe kulibayigga.