Numbers 32:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale bakazi bammwe n'abaana bammwe mubazimbire ebibuga, n'ebisolo byammwe mubizimbire engo; naye kye mugambye, mukikolanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga eby’ebigo ebinywevu, n’ebisolo byammwe mubizimbire ebiraalo, era mukole n’ebyo bye musuubizza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe mugambye mugende muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'ebiraalo olw'ensolo zammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'endiga zammwe ebisibo, era mutuukirize kye mwetemye okukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'ebiraalo olw'endiga zammwe; era mukole ekyo ekifulumye mu kammwa kammwe.