Numbers 32:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Gaadi ne bazzukulu ba Rubeni ne bakakasa Musa nti: “Abaweereza bo tujja kukola nga mukama waffe bw'olagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bw’otulagidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Mukama waffe, abaweereza bo banaakolanga bw'olagidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, ne bagamba Musa nti: “Ssebo, tunaakola nga bw'olagidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti Abaddu bo banaakola nga mukama wange bw'alagidde.