Numbers 32:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana ne bakazi baffe, ente n'endiga zaffe, bijja kusigala wano mu bibuga bya Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana baffe abato ne bakazi baffe, n’ebisibo byaffe eby’endiga n’ebiraalo byaffe eby’ente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana baffe abato, bakazi baffe, embuzi zaffe, n'ensolo zaffe zonna binaabeera eyo mu bibuga eby'e Gireyaadi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana baffe abato ne bakazi baffe banaasigala eno mu bibuga by'e Gileyaadi, awamu n'amagana gaffe ag'endiga n'embuzi, n'ag'ente.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaffe abato, bakazi baffe, embuzi zaffe, n'ensolo zaffe zonaa binaabeera eyo mu bibuga eby'e Gireyaadi: