Numbers 32:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa n'abawaako ekiragiro eri Eleyazari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuunu, n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe ez'Abayisirayeli nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’abawaako ebiragiro eri Eriyazaali kabona, n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n’eri abakulembeze b’empya ez’omu bika by’abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa ebigambo ebyo eby'abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'abiragira Eriyazaali kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'ebika by'Abaisiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa ebikwata ku bo n'abiragira Eleyazaari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'Ebika by'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'alagira Eriyazaali kabona ebigambo byabwe ne Yoswa mutabani wa Nuni n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ebika by'abaana ba Isiraeri.