Numbers 32:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bazzukulu ba Gaadi ne bazzukulu ba Rubeni bwe basomokanga Yorudani mu maaso g'Omukama buli muntu ng'ayambaziddwa okugenda mu lutalo, ensi bwe mumalanga okugiwangula, mubawanga Gileyaadi ng'obutaka bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agamba nti, “Batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni, buli musajja eyeetegese okutabaala mu maaso ga Mukama Katonda, bwe balisomoka nammwe Yoludaani, n’ensi eri mu maaso gammwe n’ewangulwa, kale mubawanga ensi ya Gireyaadi okubeera omugabo gw’obutaka bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abagamba nti, “Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja ng'akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama, ne muwangula ensi; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abagamba nti: “Ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, bwe balisomoka Omugga Yorudaani nga beetegese okugenda okutabaala nga baduumirwa Mukama, ne musobola okuwangula ensi eyo, kale mulibawa ensi y'e Gileyaadi okuba obutaka bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abagamba nti Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja alina eby'okulwanyisa olw'entalo, mu maaso ga Mukama, ensi n'ewangulwa mu maaso gammwe; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka: