Numbers 32:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe basomokanga nga tebabagalidde bya kulwanyisa, ebyabwe balibifuna nammwe mu Kanaani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe basomokanga nammwe nga tebalina byakulwanyisa, kale baligabanira wamu nammwe eby’obutaka bwabwe mu nsi ya Kanani.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte eby'okulwanyisa, obutaka bwabwe buliba wamu n'obwammwe mu nsi ya Kanani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe batalisomoka nga beetegese okugenda okutabaala, olwo obutaka bwabwe balibufuna wamu nammwe mu nsi y'e Kanaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye, bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte eby'okulwanyisa, baliba n'obutaka mu mmwe mu nsi ya Kanani.