Numbers 32:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addira obwakabaka bwa Sikoni kabaka w'Abaamori n'obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, ensi n'ebibuga byabwe ebyetooloddewo, n'abiwa abazzukulu ba Gaadi, bazzukulu ba Rubeni n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse mutabani wa Yozefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’abagabira, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w’Abamoli, n’obwakabaka bwa Ogi kabaka w’e Basani, n’abawa ensi n’ebibuga byamu, n’amatwale gaayo n’ebibuga byamu ebigyetoolodde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'awa abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, mutabani wa Yusufu, obwakabaka obwali obwa Sikoni, kabaka w'Abamoli, n'obwali obwakabaka bwa Ogi, kabaka w'e Basani, ensi n'ebibuga byamu nga bwe byali, n'ebitundu ebyetoolodde wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'awa ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ekitundu ekimu ekyokubiri eky'ab'Ekika kya Manasse mutabani wa Yosefu, ensi eyo yonna obwali obwakabaka bwa Sihoni kabaka w'Abaamori, n'obwali obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, n'ebibuga byamu, n'ebitundu byonna ebibyetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abawa bo, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w'Abamoli n'obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, ensi ng'ebibuga byayo bwe byali wamu n'ensalo zaabyo, bye bibuga eby'omu nsi eriraanyeewo.