Numbers 32:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga tusanze ekisa mu maaso go, ensi eyo eweebwe abaweereza bo ebeere obutaka bwabwe; naye totusomosa Yorudani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu by’ensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne boogera nti, “Tusaba tuweebwe ensi eno okuba obutaka bwaffe, tuleme kusomoka Yoludaani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagamba nti: “Tukusaba okkirize, ensi eno etuweebwe ffe abaweereza bo, ebe obutaka bwaffe. Totusomosa Mugga Yorudaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Oba nga tulabye ekisa mu maaso go, ensi eno eweebwe abaddu bo okuba obutaka; totusomosa Yoludaani.