Numbers 32:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'ayanukula abazzukulu ba Rubeni ne bazzukulu ba Gaadi nti: “Baganda bammwe bwe banaagenda okulwana mmwe munaasigala mutudde wano?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addamu abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti, “Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga musigadde wano?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba ab'Ekika kya Gaadi, n'ab'Ekika kya Rewubeeni nti: “Baganda bammwe banaagenda okutabaala nga mmwe musigadde wano?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga mutudde wano?