Numbers 32:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki muterebula Abayisirayeli batye okusomoka okulaga mu nsi Omukama gye yabawa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki abaana ba Isirayiri mwagala okubamalamu amaanyi mu mitima gyabwe mubalemese okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’abawadde?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki mwagala okuterebula baganda bammwe okubalemesa okusomoka okuyingira mu nsi Mukama gye yabawa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki mwagala okuterebula Abayisirayeli okusomoka okuyingira ensi Mukama gye yabawa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kiki ekibakeŋŋenterezesa omwoyo gw'abaana ba Isiraeri obutasomoka okuyingira mu nsi Mukama gye yabawa?