Numbers 32:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baava mu Kiwonvu kya Esukoli, ne balaba ekitundu ekyo, naye ne baterebula buterebuzi emitima gy'Abayisirayeli, baleme kuyingira mu nsi Omukama gye yabawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe baayambuka mu Kiwonvu ekya Esukoli, ensi ne bagiraba, ne bayeengebula emitima gy’abaana ba Isirayiri baleme okugenda okuyingira mu nsi Mukama Katonda gye yali abawadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe batuuka mu kiwonvu Esukoli ne baketta ensi; bwe badda Abaisiraeri ne baterebuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baagenda ne batuuka mu Kiwonvu eky'Ekirimba, ne balaba ensi, ne baterebula Abayisirayeli, baleme kuyingira nsi Mukama gye yabawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe baayambuka mu kiwonvu e Esukoli, ne balaba ensi, ne bakeŋŋentereza omwoyo gw'abaana ba Isiraeri, baleme okuyingira mu nsi Mukama gye yali abawadde.