Numbers 33:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'Omukama y'alagidde, kabona Aroni yayambuka ku lusozi Ori, n'afiira eyo, mu mwaka ogw'amakumi ana bukya Abayisirayeli bava mu Misiri, mu mwezi ogwokutaano, ku lunaku olusooka mu mwezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Alooni kabona n’alinnya ku Lusozi Koola, nga Mukama Katonda bwe yamulagira, n’afiira eyo, ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, ng’abaana ba Isirayiri baakamaze emyaka amakumi ana kasookedde bava mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni kabona, n'alinnya ku lusozi Koola, nga Mukama bwe yalagira, n'afiira eyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'okutaano, ogw'omwaka ogw'ana (40), okuva Abaisiraeri lwe baava mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Arooni kabona, n'ayambuka ku Lusozi Hoori, nga Mukama bwe yalagira, n'afiira eyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokutaano ogw'omwaka ogw'amakumi ana, okuva Abayisirayeli lwe baava mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni kabona n'alinnya ku lusozi Koola olw'ekiragiro kya Mukama, n'afiira okwo, abaana ba Isiraeri nga baakamaze emyaka ana okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwezi ogw'okutaano, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi.