Numbers 33:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kadde ako bo baali baziika abaggulanda baabwe Omukama be yali abasseemu, anti Omukama yali abonerezza balubaale baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’Abamisiri bwe baziika abaana baabwe ababereberye Mukama be yali abasseemu; kubanga Mukama Katonda yali asalidde bakatonda b’Abamisiri omusango okubasinga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamisiri baali bakyaziika abaggulanda baabwe bonna, Mukama be yatta mu bo, n'alaga bw'ali ow'obuyiza okusinga bakatonda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamisiri baali bakyaziika abaggulanda baabwe bonna, Mukama be yatta mu bo, n'alaga bw'ali ow'obuyinza okusinga balubaale baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abamisiri bwe baali nga bakyaziika ababereberye baabwe bonna Mukama be yakuba mu bo: ne ku bakatonda baabwe Mukama n'awalana emisango.