Numbers 33:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bava mu nsozi z'e Abarimu ne basiisira mu miseetwe gy'e Mowabu, ku Yorudani emitala wa Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baava mu nsozi za Abalimu ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu okuliraana n’omugga Yoludaani olwolekera Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basitula okuva ku nsozi ze Abalimu, ne basiisira mu nsenyi ze Mowaabu, ku Yoludaani okwolekera Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baasitula ne bava mu nsozi z'e Abariimu, ne basiisira mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Mugga Yorudaani, okwolekera Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basitula okuva ku nsozi Abalimu, ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko.