Numbers 33:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mugobangamu bonna bannansi mu maaso gammwe. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe ebya balubaale byonna ebibajje n'ebisaanuuse, era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mugobangamu abatuuze baamu bonna abagirimu kaakano. Muzikirizanga ebifaananyi byabwe byonna ebibajje n’ebiweese byonna; era musaanyangawo ebifo byabwe ebigulumivu mwe basinziza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mugobangamu abantu bonna be mulisangamu, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe ebyole ku mayinja n'ebiweeseddwa, ne musaanyawo n'ebifo byabwe byonna mwe basinziza ba katonda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
muligobamu abatuuze baamu be mulisangamu, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe byonna ebyole mu mayinja, n'ebiweeseddwa, era mulisaanyawo n'ebifo byabwe mwe basinziza balubaale baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale muligobamu bonna abatuula mu nsi mu maaso gammwe, ne muzikiriza amayinja gaabwe gonna agaliko ebifaananyi, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe byonna ebifumbe, ne musuulasuula ebifo byabwe byonna ebigulumivu: