Numbers 33:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi mugigabanye mu bika byammwe ku kalulu; ekika ekinene mukiwanga obusika bunene, ate ekika ekitono mukiwanga obusika butono. Akalulu nga bwe kaliba kagudde ku muntu, n'obusika bwe bwe bulibeera. Ensi mugigabanye nga mugoberera ebika bya bajjajjammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi mugigabananga nga mukuba akalulu ng’ebika byammwe bwe biri. Ekika ekinene kifunanga ekitundu eky’obutaka bwakyo kinene, n’ekika ekitono kinaafunanga ekitundu kitono. Buli kye banaafunanga ng’akalulu bwe kanaagambanga ng’ekyo kye kyabwe. Ensi mugigabananga ng’ebitundu by’ebika byammwe eby’ennono eby’obujjajja bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muligigabana mu bika byammwe ne mu nnyumba za bajjajjammwe, nga mukuba kalulu, abangi nga mubawa ekitundu ky'ensi kinene, n'abatono ne mubawa kitono. Buli muntu akalulu we kalimuwa, we waliba awawe, ng'agabanira mu kika kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muligigabana mu bika byammwe ne mu nnyumba za bajjajjammwe, nga mukuba kalulu, abangi nga mubawa ekitundu ky'ensi kinene, n'abatono ne mubawa kitono. Buli muntu akalulu we kalimuwa, we waliba awawe, ng'agabanira mu kika kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mulisikira ensi n'obululu ng'enda zammwe bwe ziri; abayinga obungi mulibawa obusika okusukkiriza, n'abatono olibawa obusika okukendeezaako: wonna wonna akalulu we kaligwirira omuntu, kale we waliba awawe; ng'ebika bya bakitammwe bwe biri bwe mulisika bwe mutyo.