Numbers 33:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe mutaligobamu bannansi ba mu nsi eyo, abaliba basigaddemu balibabeerera ng'amalobo mu maaso gammwe, oba ng'amaggwa mu mbiriizi. Balibafuukira ba mutawaana;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye abatuuze ab’omu nsi omwo bwe mutalibagobamu bonna, kale, abo abalisigalamu bagenda kubafuukira enkato mu mmunye zammwe era babeere maggwa mu mbiriizi zammwe. Balibateganya mu nsi omwo mwe munaabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulirekamu, balibafuukira ng'enfuufu mu maaso gammwe, n'amaggwa agabafumita mu mbiriizi, era banaabatawanyanga mu nsi eyo gye mulibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe mutaligobamu batuuze be mulisanga mu nsi eyo, abo be mulirekamu, balibafuukira ebisubi ebibagwa mu maaso, n'amaggwa agabafumita mu mbiriizi, era banaabatawanyanga mu nsi eyo gye mulibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulisigaza ku bo banaabanga ng'ebifumita mu maaso gammwe era ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, era banaabateganyanga mu nsi gye mulituulamu.