Numbers 33:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bava e Mara ne bagenda e Elimu awaali enzizi kkumi na bbiri n'enkindu nsanvu; ne basiisira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bava e Mala ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo z’amazzi ekkumi n’ebbiri n’emiti emikindu nsanvu, ne basiisira awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basitula okuva e Maala ne batuuka e Erimu. Era mu Erimu waaliwo enzizi z'amazzi kkumi na bbiri (12), n'enkindu nsanvu (70); ne basiisira awo
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne basitula okuva e Maara, ne batuuka mu Elimu. Mu kifo ekyo, waaliwo enzizi z'amazzi kkumi na bbiri, n'enkindu nsanvu. Ne basiisira awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basitula e Mala ne batuuka e Erimu: era mu Erimu waaliwo ensulo z'amazzi kkumi na bbiri, n'enkindu nsanvu; ne basiisira eyo.