Numbers 34:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo zammwe olwo ne zikkirira okuva e Sefamu ne ziraga e Ribula ebuvanjuba wa Ayini, ziserengete nga zigoba ekikko ky'ebuvanjuba ekya Kinnereti,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensalo eyo eriva ku Sefamu n'ekka e Libula, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Yaini, n'ekkirira okutuuka ku lubalama olw'ebuvanjuba lw'ennyanja ey'e Kinneresi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo eyo eriva ku Sefamu n'ekka e Ribula, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Ayiini, n'ekkirira okutuuka ku lubalama olw'ebuvanjuba olw'ennyanja y'e Kinnereti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ensalo eriva e Sefamu n'ekka e Libula ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yaini; era ensalo erikka, n'etuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kianeresi ebuvanjuba: