Numbers 34:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ensalo olwo ne zikkirira nga zigoba Yorudani ne zikoma ku Nnyanja ey'Omunnyo. “ ‘Eyo y'eribeera ensi yammwe n'ensalo zaayo ku njuyi zonna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo. “ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Ey'omunnyo. Eyo y'eriba ensi yammwe ng'ensalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo eryeyongera okukka, n'etuuka ku Mugga Yorudaani, n'ekoma ku Nnyanja Ey'Omunnyo. “Eyo ye eriba ensi yammwe n'ensalo zaayo ez'oku njuyi zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Ey'omunnyo: eyo y'eriba ensi yammwe ng'ensalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna.