Numbers 34:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'alagira Abayisirayeli nti: “Ensi mugigabanyangamu ng'obusika bwammwe nga mugikubako akalulu, Omukama gye yalagira eweebwe ebika omwenda n'ekitundu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti, “Eyo ye nsi gye mulisikira nga mukuba obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekitundu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'alagira Abayisirayeli ng'agamba nti: “Eyo ye nsi gye muligabana nga mukuba akalulu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekitundu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Eyo ye nsi gye mulisikira n'obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekika eky'ekitundu: