Numbers 34:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga ab'ekika eky'abazzukulu ba Rubeni mu nnyumba za bajjajjaabwe, ekika ky'abazzukulu ba Gaadi mu nnyumba za bajjajjaabwe, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baafunye dda obusika bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ekika ky'abaana ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekitundu ky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekimu ekyokubiri eky'ab'Ekika kya Manasse, baamala dda okuweebwa obutaka obwabwe, nga bubaweebwa okusinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ekika ky'abaana ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, baamala okuweebwa obusika bwabwe n'ekika eky'ekitundu ekya Manase baamala okubuweebwa: