Numbers 34:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lagira Abayisirayeli nti: ‘Bwe muyingiranga mu nsi y'e Kanaani, ensi egenda okubaweebwa ng'obusika bwammwe, zino ze ziriba ensalo zaayo:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanani, eyo y'ensi eriba obutaka bwammwe, ensalo zaayo zonna ziriba bwe ziti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
alagire Abayisirayeli abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanaani, eyo y'ensi eriba obutaka bwammwe, ensalo zaayo zonna ziriba bwe ziti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi ya Kanani, (eyo ye nsi eribagwira okuba obusika, ensi ya Kanani ng'ensalo zaayo bwe ziri,)