Numbers 34:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ensalo zammwe ku ludda olw'emaserengeta zinaabanga ddungu ly'e Zini eriri ku nsalo ne Edomu. Ku ludda lw'ebuvanjuba ensalo zammwe zirisimbuka ku Nnyanja ey'Omunnyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ensalo yammwe ey'omu bukiikaddyo eriva ku ddungu ly'e Zini, n'eyita ku nsalo ya Edomu. Ebuvanjuba, ensalo yammwe eyo ey'ebukiikaddyo, eritandikira ku nkomerero y'Ennyanja ey'omunnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ensalo yammwe ey'omu bukiikaddyo eriva ku ddungu ly'e Ziini, n'eyita ku nsalo ya Edomu. Ebuvanjuba, ensalo yammwe eyo ey'ebukiikaddyo, eritandikira ku nkomerero y'Ennyanja ey'Omunnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale oluuyi lwammwe olw'obukiika obwa ddyo luliva ku ddungu Zini ne luyita ku mabbali ga Edomu, n'ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo eriva ku nkomerero y'Ennyanja Ey'omunnyo ebuvanjuba: