Numbers 34:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ku ludda olw'emambuka, mulirambika ensalo zammwe okuva ku Nnyanja Ennene okutuuka ku lusozi Ori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ensalo yammwe ey'ebukiikakkono eriva ku Nnyanja Eyawakati okwambukira ddala okutuuka ku lusozi Koola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulyerambira ensalo yammwe ey'ebukiikakkono, okuva ku Nnyanja Eyaawakati okutuuka ku Lusozi Hoori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eno y'eriba ensalo yammwe ey'obukiika obwa kkono: okuva ku nnyanja ennene mulyerambira olusozi Koola: