Numbers 35:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulondangayo ebibuga bibeere ebibuga byammwe eby'obuddukiro, aliko omuntu gw'asse mu butanwa gy'ayinza okuddukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe eby’okuddukirangamu; ng’omwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mw’anaddukiranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulyerondera ebibuga eby'obuddukiro; omunaddukiranga omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulyerondera ebibuga eby'obuddukiro ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale mulyerondera ebibuga okuba ebibuga eby'okuddukiramu gye muli; omussi w'omuntu anattanga omuntu yenna ng'ataniddwa addukire omwo.