Numbers 35:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Biriba bibuga byammwe eby'obuddukiro oli gy'ayinza okuddukira awoolera eggwanga, avunaanibwa okutta alemenga kuttibwa nga tamaze kuleetebwa mu maaso ga kibiina n'awozesebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bye binaabanga ebifo eby’obuddukiro okwewala omuwoolezi w’eggwanga, omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso g’ekibiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga ebyo binaabanga bya kuddukiramu okuwona omuwoolezi w'eggwanga; omussi alemenga okuttibwa nga tannawozesebwa mu maaso g'ekibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga ebyo bye munaddukirangamu okuwona omuwoolezi w'eggwanga, buli anaabanga asse omuntu alemenga kuttibwa nga tannawozesebwa mu lujjudde lw'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibuga binaabanga gye muli bya kuddukirangamu eri omuwoolezi w'eggwanga; omussi w'omuntu alemenga okufa nga tannayimirira mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango.