Numbers 35:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga bino omukaaga kifo kya buddukiro ku buli mwana wa Yisirayeli, n'omugwira, oba omusenze asula mu mmwe, ng'abadde asse omuntu mu butanwa gy'anaddukiranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri n’abagenyi bammwe, n’abagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga ebyo omukaaga binaabanga buddukiro bwa Baisiraeri, n'omugenyi, ne mu nnaggwanga atuula mu bo. Buli anattanga omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga omwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga ebyo omukaaga, binaabanga bya buddukiro bwa Bayisirayeli, n'omugwira azze obugenyi, n'oyo abeerera ddala mu bo. Buli anattanga omuntu nga tagenderedde, anaayinzanga okuddukira mu kimu ku byo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi n'eri oyo atuula mu bo, ebibuga ebyo omukaaga binaabanga bya kuddukirangamu: buli anattanga omuntu yenna ng'ataniddwa addukirenga omwo.